Friday, 6 February 2015

1. Okuyigirizibwa kw’omuto Angela



   Omuto Angela

   Angela kawala kalungi akabeera ne bazadde baako abaagalwa ku kaalo akatono kyokka akalungi ddala okuliraana ekibira.
   Kaagala nnyo okuddukira mu kibira ne mikwano gyako era nokuzannya nabo emizannyo mingi, naye ate okusinga byonna kaagala nnyo okukungaanya ebimuli ebirungi okubitonera maama waako akaagala ennyo.
   Taata waako buli lwadda okuva ku mulimu kadduka mangu ne kamugwa mu kifuba nokunywegera ku matama ge gombi. Kaagala nnyo taata waako era kamweyitirakabaka wangeso ne taata waako akaagala nnyo, akanywegera buli kaseera ku butama bwako era naye akeeyitiraNnaabakyala wange omuto”.
   Ka Angella kano kalina baganda baako  nga omukulu ye Christine, ate Yosefu ye muto waako.
   Christine naye muwala musuffu, wa kisa, mubalagavu era buli omu ayagala okuba naye. Omwaka guno agenda kuva awaka agende mu ssetendekero oba yunivaasite era agenda kutandika kubeera mu kibuga. Ayagala nnyo abaana abato era ayagala kubeera musomesa.

   Yosefu nako kaana kato, kalungi nnyo era kagenda kutandika okusoma omwaka guno. Angela akaagala nnyo era akalabirira obutabaako kye koonoona. Nga maama, akalabirira bulungi obuteetusaako bulabe ate kutandika kukaaba. Yosefu naye ayagala nnyo okuzannya ne mwannyina naye okusinga byonna ayagala nnyo okumuwuliriza ng’amunyumiza obugero. Ebiseera ebisinga, Yosefu yeebaka ng’obugero tebunnaggwaayo. Angela kyakola ng’akanywegera ku butama, ng’akabikka bulangiti kasobole okubuguma ng’afuluma bweru asobole okuddamu okuzannya.
   Angela musanyufu kuba omwaka guno gwe mwaka gwe ogusooka ku ssomero era ayize ebintu bingi ddala. Era buli lw’akomawo eka asooka kunyumiza ku bakadde be byonna byasomye olunaku.
   Newankubadde ka Angela kawala kato, kagezi ate kaagala nnyo okuyiga ebintu eby’enjawulo. Maama asanyuka nnyo buli malayika we omuto ono lw’ajja gyali okubaako kyamubuuza.
Ensangi zino Angela alina ebibuuzo bingi nga ayagala okumanya n’okuyiga buli ky’alaba ekimwetoolodde era ekimwegombesa.  Lumu Angela yagenda ewa maama we n’obumalirivu era namugamba nga bw’ayagala okumanya eyakola enjuba n’agiwanika waggulu mu bwengula ate n’emulisa ensi yonna.
Bambi ne nnyina akiraba nti kino kye kiseera ekituufu okwogera ne muwala we ku bintu ebikwata ku Katonda n’ebintu byeyakola eby’ekyewuunyo. Ayagala amanye Katonda kitaffe ow’omu ggulu ate amwagale nnyo n’omutima gwe nga ye n’omwami we bwe bamwagala.
   Yasalawo okunnyonnyola okuviira ddala ku ntandikwa Katonda yatonda atya ensi n’obwengula bwayo obulungi, enjuba n’emunyenye ezaaka ekiro, olukalu okuli ebibira ssaako emigga, ennyanja, ebimuli na buli kimu ekiri mu nsi eno.
   Angela yasanyuka nnyo kubanga maama we omulungi yali wa kumunyonnyola ebintu bingi era yali tasobola kumulinda kutandika. Maama bwe yalaba okubuguumirira kwa muwala we n’atandika emboozi akawungeezi ako.
   Baalya bulungi eky’eggulo kyabwe, ne bazazika ka Yosefu okwebaka kuba kaali katandise okubongoota. Oluvannyuma Sophia yawambatira muwala we, n’akanywegera olwo n’aatandika okukannyonyola eby’obutonde bwa Katonda obw’ekyewuunyo.
-Ow’omukwano Angela, emyaka mingi nnyo emabega, eno ensi teyali nga bwe tugiraba leero. Eggulu n’obwengula n’emunyenye ezitemagana tebyaliwo newankubadde ensi n’ebimuli ebya langi ez’enjawulo. Tewaali miti, nsolo newankubadde obwaguuga  bw’ennyanja n’ebyennyanja byamu.
-Maama kati mu kiseera ekyo twaliwo?
-Nedda mwana wange. Katonda waffe omulungi yali tanatutonda.
-Maama ensi n’eggulu bwe byali nga tebinatondebwa, kiki ekyaliwo?
-Waaliwo ekizikiza kyokka nga kimaamidde buli wamu. Mwana wange katonda waffe yekka ye yaliwo.
Angela yeewunya n’agamba - nti ekyo kirabika kyali kibi nnyo.
-Yeee mwana wange. Naye newankubadde nga kyali kibi, oluvannyuma embeera yalungiwa nnyo katonda bwe yatandika okutonda ensi eno ennungi.
-Olwo Katonda ensi yagitonda atya maama, Yakozesa ki okugitonda?  Bwatyo Angela ng’ajjudde ebibuuzo bwe yabuuza maama we.
-Byonna byolaba Katonda yabitonda nakiragiro kimu mwana wange. Yagambanga bugambi nti kibe era ne kiba.
-Yasobola atya okukola ekintu ekyo?
-Yakisobola kubanga ye wa maanyi.
-Okuba ow’amanyi kitegeeza ki maama?

-Kitegeeza nti mugezi era wa kitalo nnyo nti era asobola okukola kyonna kyayagala. Nga bwali owamaanyi, yatonda ensi ennungi n’ebitwetoolodde n’ebyo byetutasobola kulaba na maaso gaffe ag’obuntu. Eyo y’ensi ey’omwoyo bamalayika bonna ob’omuggulu mwebabeera.
-Abo be bamu ku bamalayika abajja nga Yesu Kristo amaze okuzaalibwa?
-Yee mwana wange abo be bamalayika abajja ku mmanvu Kristo mwe yali azazikiddwa era ne balangirira amawulire amalungi eri abantu bonna nti Kristo azaaliddwa. Bamalayika abo bonna baali batunula era nga beegomba Katonda eyatonda ensi okuva mu butaliiwo.
-Bamalayika abo bali mu ggulu wokka maama?
-Ssi mu ggulu wokka, wabula batuli kumpi okusobola okuyamba emyoyo gyaffe okwagala ennyo katonda waffe omusaasizi. Gye mikwano gyaffe egisingayo era batwagala nnyo.
Katonda waffe omulungi awa buli mwana malayika amwagala ennyo asobole okubanga naye bulijjo. Malayika ono omuyamba okukola ebikolwa ebirungi Katonda kitaffe byayagala enyo?
-Maama; nange nina malayika owange?
-Bwe kiri mwana wange omuto, era olunaku lwe watbatizibwa n’ofuuka omu Kristo Katonda waffe omulungi yakuwa malayika wo omuto?
-Bambi maama mbulira ku malayika wange omuto.
-Nja kubuulira ku malayika wo ne bamalayika bonn abalala olunaku olulala osobole okubamanya n’okubaagala okusingawo.
Naye kati mwana wange omulungi ngenda kukubuulira engeri ensi eno eyekyewunyo gyeyatondebwamu. Tulyoke nno twegatte ku bamalayika ab’omuggulu tutendereze Katonda waffe omuwoomerevu eyatuwa ensi eno amakula.

Obutonzi bwa Katonda Kitaffe obw’ekyewuunyo

  
 Omuto Angela yasanyuka nnyo kubanga maama we omulungi yali agenda kumunyonnyola ebintu bingii ebikwata ku nsi eno ennungi mwe tubeera. Yamunywegera ku matama gombi n’omukwano omungi. Maama naye yanyweza kawala ke kano mu mikono gye era n’akaweeweeta mu nviiri zaako nalyoka yeyongera mu maaso n’emboozi.
-N’olwekyo Angela wange omulungi, Katonda waffe omulungi nga tannatandika kutonda nsi eno ennungi, yasooka n’atonda eggulu n’ensi. Ensi yali ntabufutabufu, olukalu n’ennyanja byali bitabikiddwa era nga bimaamiddwa ekizikiza ekitakoma. Tewaali kabonero ka bulamu konna.
-Eee n’ekitegeeza tewaali kitangaala kyonna maama?
-Tewaali mwana wange wabula ekizikiza ekitakoma nga kimaamidde buli wamu.
Naye Katonda mu ddoboozi eggwoomerevu n’agamba nti,
“Leka ekitangaala kibeewo!”
Amangu ago ekitangaala ekyamanyi nekibuna wonna era ne kimulisa buli kintu.
Awo Katonda naayawula ekitangaala ku kizikiza, ekitangaala n’akiyita emisana ate ekizikiza n’akiyita ekiro.
Awo olunaku olw’obutonzi olusooka we lwakoma.
-Kati Katonda ebisigadde yabikola ddi?
-Mu nnaku ez’obutonzi ezaasigalawo.
-Kyamwetaagisa ennaku nnyingi okumaliriza byonna?
-Bayibuli entukuvu etugamba nti Katonda yatonda ensi eno ennungi mu nnaku mukaaga zokka.
-Maama Bayibuli entukuvu kye ki?
-Kye kitabo kya Katonda, mwana wange. Ebyafaayo by’ensi ne Katonda byayagala abantu bakole byonna biwandiikiddwa omwo.
Okuva mu kyo buli muntu asobola okuyiga ebyo byalina okukola asobole okubeera omusanyufu. Obutonde bw’ensi bwonna bwe nkunnyonnyola buwandiikiddwa mu Bayibuli eyo.
-Maama bwe nnaaba njize okusoma naasobola okugyesomera nsobole okuyiga Katonda waffe omulungi byayagala nkole?
-Ddala ddala mwana wange, Katonda asanyuka nnyo  abaana be ku nsi bwe basoma ekitabo kino ne bayiga bwe balina okweyisa. Ayagala buli muntu amanye nga bwatwagala era nga bwayagala okutuwambaatira nga nze bwenkuwambatidde mu mikono gyange.
-Njagala nnyo okubeera nga ndi mu kifuba kyo maama kubanga kibuguma  era mpulira nga ndi musanyufu.
-Nange mba musanyufu buli lwe nkuwambatira mu mikono gyange kubanga oli kya bugagga kyange. Katonda waffe omulungi naye awulira ekintu kye kimu ng’atuwambatidde mu mikono gye. Awulira esanyu era aba tayagala tumuveeko. Essanyu lye libanga erya kabaka omusanyufu olw’okuba n’abambejja be.
-Maama bwe kiba nga kimusanyusa okubeera mu kuwambatirwa kwe, nze saagala kumuba wala alyoke asanyukenga buli kadde.
-Bw’onoobeera omwana omulungi era ng’oyagala buli muntu, olwo ojja kubeera mu mikono gya Katonda nga omumbejja we omuto.
-Maama njagala nnyo okubeera omumbejja wa Katonda waffe omulungi nsobole okumusanyusanga. Ye Maama, nsobola okumuyita “kabaka wange” kubanga nze nja kuba mumbejja we?
-Kisobokera ddala mwana wange. Ajja kubeera kabaka wo ate gwe obeere mumbejja we era yakuwambatidde dda mu mikono gye emitukuvu n’omukwano omungi era akugamba ebigambo ebiwoomerevu bingi.
-Maama naye lwaki sisobola kubiwulira?
-Kubanga abyogerera mu kyama eri omwoyo gwo. Mu kaseera kano Bamalayika b’omuggulu bokka be basobola okubiwulira. Olunaku lumu bwolibeera mu ggulu naye, ojja kutegeera bwe yakwagala ennyo ng’okyali ku nsi era owulire eddoboozi lye eggwoomerevu. Kati wummulira wano mu mikono gyange ozibiriremu katono omugambe n’eggonjebwa nti omwagala n’omutima gwo gwonna.
Angela waffe omuto yagwa mu kifuba kya maama we  n’azibiriza amaaso ge n’omukwano omungi n’okusaba okw’ekito n’agamba Katonda nti;
-“Katonda wange omuwoomerevu, oli kabaka wange era njagala obeere musanyufu kubanga nkwagala nnyo. Njagala onfuule omumbejja omulungi era nja kukola byonna byoyagala, olwo nno ndyoke nkusanyusenga. Njagala onnyambe nsobole okuyiga okusoma ekitabo kyo ekitukuvu mu bwangu, kubanga njagala ntegeere biki byoyagala omumbejja wo omuto akole”.
Bino byonna Angela omuto yabyogera nga ne maama we amuwulira era bya musanyusa nnyo.
-Oyagala tweyongereyo n’emboozi Angela wange oba okooye?
-Siri mukoowu maama wabula ndi musanyufu. Weeyongereyo bambi kubanga njagala okumanya Katonda waffe yatonda atya obutonde obusigaddeyo.
-Katonda bwe yamala okwawula ekitangaala ku kizikiza yagamba nti;
“Leka wabeewo eggulu n’ensi!”
Olwo obwaguuga bwekibangirizi bwatandika okwetondeka okuva ku nsi. Kino kyali kyanjawulo era kyaleetera bamalayika mu ggulu okuyimba ennyimba ezitendereza Katonda ow’omuggulu. Ebyo byonna byaliwo ku lunaku lwobutonzi olwokubiri.
Ku lunaku olw’okusatu Katonda n’agamba;
“Leka amazzi gaawukane n’olukalu!”
Era ne kibeera, olukalu lwameruka okuva mu mazzi, Katonda olukalu n’aluyita ensi, ate amazzi  nagayita ennyanja.
-Eee, kirabika kyali kirungi nnyo ettaka nga liva mu mazzi, ssi bwe kyali maama?
-Ate kyasukka Katonda  bweyagamba nti,

“Ensi ka emere buli kika kya muddo n’emit!”
Olwo ensi n’etandikirawo okufuuka eya kiragala nabuli kika kya muddo n’emiti n’ebimeruka. Ebimuli byeyanjuluza, ensigo n’emiti negireeta  ebibala. Mu kiseera kye kimu emyala, emigga, n’ennyanja byatondebwa, kyali kyamagero ekyewuunyisa okulaba ebintu bino byonna nga bibaawo.
-Siyinza kuteebereza ssanyu n’okubuguumirira kwa bamalayika.
-Kituufu mwana wange, buli kaseera baalinga batendereza kabaka  waffe n’essanyu eringi.
-Singa nnaliyo, nandibadde nnyimba nabo mu ssanyu eringi.
-Nkakasa wandibadde oyimba nabo ennyimba oz’okumutendereza kubanga ate wandisanyuse nnyo amaaso go bwe gandirabye ate kyeyaddako okutonda.
-Lwaki maama, kiki ekyo ekyaddako oluvannyuma?
Kale ku lunaku olwokuna nayogera.
“Wabeewo ebyaka mu bbanga ery’eggulu okumulisanga ensi n’okwawula emisana n’ekiro, n’okubanga  obubonero bw’ebiro, by’omyaka”.
Awo Katonda n’atonda omwezi n’enjuba n’emunyenya ennyingi ezajjula ku ggulu.
Sophia nga agenda mu maaso okunyonnyola muwala we ebyamagero by’obutonde bino ebyewuunyisa, kawala ke kano kasanyufu nnyo olw’ebyo bye kaali kawulira.
Ng’omuwala akuze yeewuunya olw’ebyo kitaffe kyeyakola era buli kiseera ng’agamba nti “eee nga kisuffu” Sophia yategeera essanyu lya muwala we era yatendereza nnyo Katonda olw’ekkula lye yamuwa.
Angella omuto obugumiinkiriza bwamuggwaako ng’ayagala kumanya kiki ekirala kabaka we ow’omuggulu kyeyaddako okutonda. Maama we yeyongerayo n’emboozi.
Ku lunaku olwokutaano Katonda n’agamba;
“Leka wabeewo ebintu byonna ebiramu mu ggulu ne mu nsi.
Awo ebbanga lyonna ne lijjula ebinyonyi ebingi nga bye bongera  mu bbanga era nga biyimba mu maloboozi amasuffu.
Yo ennyanja n’ejjula ebyabuli kika era omwo mwe byawugiranga.
-Maama at’ebisolo ng’akabwa kaffe ne kappa nabyo yabikola ku lunaku  lw’elumu?
-Ebisolo byonna eby’okunsi yabikola ku lunaku olusembayo, ku lunaku olw’omukaaga awo Katonda n’agamba;
 “Leka wabeewo ensolo zonna ez’okunsi”
Awo ebisolo byonna eby’omu ddungu ne mu nsiko byonna ebirya omuddo ne bitondebwa. Eyo ye ngeri Katonda gye yamalirizaamu obutonzi obw’ekyewuunyo obw’ensi eno mwe tubeera.
-Maama njagala kugamba Katonda nti mwagala nnyo era mmwebaze nnyo olw’ebintu byonna bye yakola mu magezi  n’amaanyi  ge.
-Kituufu mwana wange kirungi nnyo bulijjo okumwebazanga olw’ebyo  byatuwa. Naye kati mpulira okooye oba oyagala nkubuulire Katonda waffe omulungi bwe yatutoda  ffe abantu?
Nedda maama, nze ssinnakoowa  era  n’essanyu eringi njagala kumanya  Katonda yatutonda atya.

Obutonde bw’omuntu obw’ekyewunyo

Mwana wange Katonda bye yakola ensi eno ey’ebyewuunyo mu nnaku omukaaga, kwe kugamba mu biseera ebiwanvu mukaaga. Bamalayika b’omuggulu beegomba obutonde buno obulungi era ne batendereza Katonda ow’amaanyi n’okujaguza. Naye ate essanyu ly’abeeyongera bwe baamuwulira ng’agamba nti;

“Nja kukola omuntu, ekitonde kyange  ekisinga obulungi era nja kumuwa obutonde bwonna abufuge”.
Katonda n’akola omuntu mu ngeri eyenjawulo ddala ku bitonde ebirala we yagambiranga obugambi nti kibeera, ku muntu kyali kya njawulo.
-Lwaki, maama, ku muntu kyali kya njawulo?
-Kubanga yayagala akole omuntu akole omuntu ng’afaanana ye Katonda we olwo nno alyoke abeere mu mutima gwe; ekintu ne bamalayika mu ggulu kye batalina.
-Kino kyaliwo kitya?
-Yaddira ettaka ly’oku nsi, okukolamu omubiri gw’omuntu olwo n’amufuuwamu omukka gwe omutukuvu, ekya mwoyo mutukuvu kyabuna omwoyo gw’omuntu nekimujjuza okwagala okungi eri obutonde naye n’okusinga byonna Katonda we era kabaka we. Era kano ke kaseera kennyini, muwala wange, Omuntu, ekitonde kya Katonda ekisingayo, gye kyamalirizibwamu.
-Omuntu eyasooka yalina erinnya maama?
-Kituufu ddala Katonda yamutuuma Adam.
-Ye Adamu yasobola okulaba ku Katonda?
-Kituufu mwana wange, Katonda kye kintu Adamu kyeyasooka okulaba ng’amaze okutondebwa.
-Yawulira atya maama ng’alabye ku Katonda omulungi?
-Kye yawulira kyali kirungi era tewali asobola kukinyonnyola, omutima gwe gwajjuzibwa okwagala okutakoma, eddembe n’essanyu.
-Katonda ate ye yawulira atya ng’alabye ku muntu maama?
-Yali musanyufu nnyo mwana wange era nga bw’olaba nze naawe.
-Naye ate nze ndi mwana wo maama!
-Naye eri Katonda mwana wange, buli muntu mwana we, kubanga ye taata w’emyoyo gyaffe ddala. Ffe nno tulina kyetwatwala okuva ku Katonda waffe omwagalwa. Katonda omulungi yaddira ettaka n’akolamu  omubiri, naye ate bweyali atuwa omwoyo, yatufuuwamu omukka gwe  oba omwoyo omutukuvu. N’olw’ekyo alina kyeyessaamu ate n’akiteeka mu ffe.
   Yayagala tumanye nti waliwo kye tulina okuva mu ye nti era tuli baana be abaagalwa. Nga bwe nnakuzaala okuva mu lubuto lwange, mwana wange, n’olwekyo ndi maama wo ate oli mwana wange, ne Katonda yakola ekyo kyennyini. Okutondebwa kw’omuntu kulinga okuzaalibwa. N’olwekyo olunaku lumu emibiri egyaffe  gyakolebwa mu ttaka girizzibwayo okuyita mu kufa mu ttaka. Naye ate mukama ayagala emyoyo gyaffe egitafa okuva mumutima gwe era nate gyiddeyo mu mutima gwe omutuukirivu.
-Kirungi nnyo maama era kisuffu nnyo okubeera nti Katonda omulungi ye nnyaffe yennyini.
Olw’okuba nti yatuwa omwoyo okuyita mu mwoyo omutukuvu, n’olwekyo ye maama waffe ate kitaffe. Ssi bwekiri maama wange omwagalwa?
-Kyekyo kyennyini mwana wange, ye taata waffe ate era maama wa buli mwoyo. Y’ensonga lwaki ayagala buli muntu era ayagala nnyo okutuwambatira mu mutima gwe omutukuvu n’okwegomba n’omukwano omungi nga era maama bwawambatira akawere ke.
-Okuva n’olwaleero maama nja kwagala Katonda oyo omulungi nga bwenkwagala.
-Kituufu mwana wange mwagale n’omutima  gwo gwonna era omugambe ebigambo ebyo ebiwoomerevu bulijjo by’onngamba.nga tonnakola kintu kyonna lina okusooka okulowooza  oba Katonda anakyala awo olyoke okikole.
-Kati olwo mmanya  ntya nti ekintu Katonda takyagala?
-Okusookera ddala buuza omutima gwo oba maama wo anaayagala ekintu ky’ogenda okukola olwo olyoke okikole. Singa gukugamba nti taakyagale, era tokikola kubanga buli maama ku nsi kuno kifaananyi kya  Mukama.
-Maama okubeera mu kifaananyi  kya mukama kitegeeza ki?
-Kitegeeza nti Katonda nga bw’ali omulungi, na buli maama bw’atyo. Lowooza  ku maama wo omuwoomerevu kyali gyoli olwo olyoke otegeere kiki Katonda kyali eri buli muntu.
-Maama, ggwe ne taata muli buli kimu gyendi?
-Mukwano naawe oli buli kimu gyendi n’eri taata wo omulungi. Essanyu lyaffe wano ku nsi lituli mu mmwe abaana baffe.
-Maama tuli buli kimu eri ne Katonda omulungi?
-Kituufu mumbejja wange. Katonda yatona obutonde era butwegombesa, naye ate essanyu lye liri mu kuba nti tumwagala n’emitima gyaffe gyonna era nga ye buli kimu gye tuli.
-Maama Katonda atubonereza?
-Ddi maama wo lwakubonereza?
-Singa mba siri mwana mulungi era n’enkola ebinyiiza.
-Lwaki maama wo akubonereza ate ng’okimanyi akwagala nnyo? Akikola olw’okuba takwagala oba lwakuba ayagala obe omwana omulungi era ng’akwenyumirizaamu?
-Kuba omwana omulungi nga ggwe ne taata munnenyumirizaamu.
-Ne Katonda omulungi bwatyo, nga Katonda omulungi ate omuwoomerevu, anakuwala era n’anyiga singa abaana be baleka okwagala kwe ne bakola bo bye baagala ebitali bituufu. Ayagala tube ku nsi ng’abambejja so ssi ng’abaana abalala kubanga yye ye kabaka w’ensi yonna.
-Maama buli lwe nkunyiiza  nkwetondera n’onsonyiwa n’otokoma okwo n’onywegera. Katonda bwe tumunyiiza tulina kukola kiki?
-Kyokola ku nze  ng’omaze okumanya ensobi yo, tunula waggulu eri eggulu ogambe,
Nsonyiwa Katonda wange nkunakuwazza olw’ensobi  zange.
-Ky’ogamba, maama, olwo nga ansonyiyirawo nga ggwe bw’okola?
-Ddala ddala mwana wange, ajja kukusonyiyirawo bunnambiro era ayite bamalayika be abagambe nti “mulabye nga malayika wange omuto era omuwoomerevu Angella bwali omulungi ate ow’ekisa? Anneetondedde olw’ensobi  n’olwekyo, simusonyiye busonyiyi kyokka, naye ate nja kujjuza omwoyo gwe ebirabo eby’omwoyo. Olwo n’alyoka akuwambatira n’okunywegera okungi nga maama wo bw’akola.
-Katonda waffe nga mulungi maama! Mwagala nnyo era saagala kumunyiiza na nsobi zange.
-Kirungi nnyo mwana wange era bwentyo bwe njagala olowoozenga obulamu bwo bwonna.

Okutondebwa kwa Eva

-Maama wanngambye nti Katonda yakola omusajja era n’amutuuma Adam. Naye ate omuwala afaanana nga nze, yatondebwa ddi?
-Katonda bwe yatonda Adam, mwana  wange, yamuteeka mu lusuku olulungi era olunene lwe yatuuma Paradiiso. Lwali lujjudde emigga, ennyanja n’ebimuli.
Ku miti eminene kwe kwali n’ebinyonyi ebyalinga by’ebonga nga bwe biyimba mu maloboozi amaseeneekerevu. Tewali kifo kunsi kyali kyenkana kiri.
Adam yakibeerangamu ennaku ze zonna nga musanyufu, nga wa mukwano n’ebisolo byonna era nga nabyo bimwagala nnyo. Wabula nga omwoyo gwe munakuwavumu!
-Nga munakuwavu gutya maama?
-Yalabanga buli kisolo nga kilina ekibeezi  kyakyo era nga bizannya mu ssanyu eringi, naye n’ayagala okuba n’omubeezi asobole okugabana naye ku ssanyu ly’omu Paradiiso.
-Lwaki ekyo teyakigamba Katonda waffe maama?
-Kubanga mwana wange ekyo Katonda yali akimanyi era yali ayagala kumukolerayo keewuunyisa.
-Keewuunyisa katya maama?
-Oluvannyuma lw’olunaku olulungi era olw’essanyu n’ebisolo bye, Katonda yakooya omubiri gwe era n’amwebasa wansi w’omuti omunene okuliraana omugga. Adam nga yeebase, Katonda yamu jjaamu olubiriizi lwe era n’amukoleramu omukyala gwe yatuuma Eva.
-Haaa, nteebereza kati kwewuunya Adam kwe yalina bwe yazuukuka n’alaba  Eva mu maaso ge, maama!
-Yye, yeewunya naye ate n’essanyu lyali  lingi era nga terinyonnyolekeka. Kye kirabo Katonda kye yamuwa ekyali kisingayo. Yatunuulira Eva nga tasobola kukkiriza  nti mu maaso ge mwalimu omuntu bwe baali bafaanana.
-Ate ye Eva yakola ki maama?
-Essanyu lya Adam lyamusanyusa nnyo era nga olubeerera tassa kumumwenyeza, mwana wange.
-Olwo nga ate ye Katonda?
-Yali musanyufu nnyo olw’essanyu ly’abaana be era nga bamalayika ab’omuggulu bamuyimbira ennyimba ezimutendereza, mwana wange. Awo Katonda n’asemberera abaana be n’abawa omukisa.
Adam ne Eva be bafumbo abaasokera ddala ku nsi, n’olwekyo, wamu n’omukisa gwe ogw’ekizadde, yabawa amagezi nti singa banamugonderanga, kyali kya kubayamba okuba n’omukwano n’essanyu lingi mu Paradiso.
-Katonda waffe yabagambaki  maama?
-Nja kubuulira olulala ebigambo ebiwoomerevu n’amagezi ge yabawa mwana wange naye kati obudde buyise era olabika oyagala kwebaka. Genda weebake tujja kweyongerayo olunaku olulala n’emboozi  ya Adam ne Eva. Jangu wano nkunywegereko era nkwagalize ekiro ekirungi mwana wange.
-Ekiro ekirungi Maama, nkwagala nnyo ne Katonda waffe omulungi naye mwagala nnyo n’omutima gwange gwonna. Sula bulungi Katonda wange!